Email Email Print Print

Ttabamiruka ‘08 Resolutions – Luganda Version

Posted on 03 September 2008

CONFERENCE RESOLUTIONS

FFE ABATEESA MU TTABAMIRUKA 2008 E NEW JERSEY MU AMERIKA

TUKIKAKASIZZA NTI

- Buganda efugibwa mu ngeri etaliimu bwenkanya.

- enfuga etalimu bwenkanya ereeta obwavu, obutabanguko n’effugabbi mu ggwanga. Emitawaana gino tugirabye era tukyagiraba mu ggwanga lyaffe ne mu Yuganda okuva mu 1966.

-enfuga erina okukyuka, era tukkirizza omulimu guno.

TUSSIZZA KIMU NTI:

1. Tuli bawulize eri Ssabasajja Kabaka , ennono, obuwangwa n’obulombolombo bwaffe. Tweyanzizza nnyo obubaka bwa Ssabasajja.

2. Tweyambudde obutiitiizi, obugayaavu n’obusabiriza nga tulwanirira eddembe n’obwenkanya. Tekigwanidde mukulembeze wa Buganda yenna okusabiriza.

3. Twenyumiririza mu buzira bw’Omuzaana Betty Nambooze n’Abasajja ba Kabaka Charles Mayiga ne Medard Lubega nga bagoberera okusiima kwa Ssabasajja Kabaka, era tweyama okuba abazira nga bo.

4. Kigwanidde Abaganda nga bayita mu nnono, mu buwangwa, mu by’obufuzi ne mu bulombolombo batandike okukolagana butereevu n’Abantu ba Yuganda abalala ku bwegassi n’enfuga gye baagala, era babage nabo Ssemateeka omupya atakontana na byetaago bya Buganda.

5. Kigwanidde enkolagana ebeere ku musingi guno;

-Yuganda nsi ya bantu baamu, abasibuka mu mawanga ekkumi n’ana agaalina obubonero ku kisenge mu Parliament ya Yuganda, agaakola endagaano ku nfuga egatta Yuganda mu 1962.

-Buganda yayingira mu ndagaano eyo nga eggwanga eryefuga,eryava mu bufuge nga October 8, 1962.

-Abantu twagunjawo gavumenti ya wakati etuweereze, sso ssi etuduumire.

-Abatu twassaawo Gavumenti eya wakati ebeere n’emirimu era n’ebintu bye tugisalira, sso ssi yo Gavumenti okweddiza obuyinza n’ebintu byonna ffe etubegereko.

6. Tekigwanidde kuteeesa ku buyinza bwa Baganda okufuga Buganda ku nsonga zonna ez’omunda, nga mw’otwalidde ennono n’ettaka. Tewali mukulembeze wa Buganda alina buyinza kuyingira mu kuteesa ku nsonga eno. N’ebya bannaffe ab’amawanga amalala tetubibasalirawo.

Tukubiriza Abaganda bateese ku nsonga zino mu byalo byabwe, mu bika ne mu nkiiko era basaasanye ebirowoozo byabwe.

Ebirowoozo byaffe tubiroopye Embuga nga tuyita mu Mubaka wa Ssabasajja mu ssaza wetutudde – 31 August 2008.

Email Email Print Print

This post was written by:

Chris Bijugo Lumu - who has written 88 posts on Buganda Post.


Contact the author

0 Comments For This Post

1 Trackbacks For This Post

  1. Beti Kamya Takes Buganda Politics to Another Level | Buganda Post says:

    [...] The Ttabamiruka ’09 resolutions in English are reproduced below. The Luganda version is at Ttabamiruka ‘08 Resolutions – Luganda Version. [...]

Leave a Reply

You must be logged in to post a comment.