Email Email Print Print

Katikkiro’s Statement On The Burning Of Kasubi Tombs

Posted on 18 March 2010

Below is the the Luganda statement that the Katikkiro of Buganda, Eng. JB Walusimbi, issued on the burning of Buganda’s sacred Kasubi Tombs. The main highlights of the statement are as follows;

  • Katikkiro sends condolences to Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, ba Nnaalinnya, Abalangira n’Abambejja, and the whole of Buganda.
  • The Ekibira section, the the remains of the former kings (Ssekabaka) are located suffered serious but limited damage.
  • The Buganda kingdom will officially mourn for the loss of Kasubi for one week, starting on March 22, 2010.
  • A committee of Buganda officials has already been formed to start investigating what materials and budget would be required to rebuild 130 year old highly unique structure.
  • A special session of the Buganda Great Lukiiko has been called to discuss the grave situation on March 22, 2010.

The full text in Luganda is shown below;

March, 17, 2009

EKIWANDIIKO KYA KATIKKIRO KU KW’OKEBWA KWA MASIRO GE KASUBI

Owek. Katikkiro wa Buganda ne nnaku nyingi ategeza Obuganda n’abantu bonna aba Uganda nti enyumba enkulu Muzibuazaalampanga, omwagalamizibwa ba Ssekabaka ba Buganda bana, mu Masiro e Kasubi, abantu abettima abatannamanyibwa baagiteekedde omuliro n’ebengeya mu kiro eky’akeesezza olunaku Lwokusatu nga 16, March 2010.

Katikkiro asaasidde nnyo nnyo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, ba Nnaalinnya, Abalangira n’abambejja n’Obuganda bwonna. Gutusinze mukama waffe.

Ekibira ba Ssekabaka gyebaagalamizibwa abaddukirize baakoze buli ekisoboka okutaakiriza yo ne watayonooneka nnyo. Olubiri luno olwakubibwa Ssekabaka Muteesa 1 emyaka egisoba mu 130 gwe mutima gwa Buganda.

Obuganda buli mu biwoobe era tutandiise okukungubaga. Okukungubaga okutongole kujja kutandika ku Lwokusooka nga 22 March era kujja kumalira ddala sabbiiti nnamba okutuuka nga 26 March 2010. Emikolo girikomekkerezebwa mu Masiro e Kasubi.

Akakiiko ka baminisita kateekeddwawo okukola enteekateeka y’okukungubaga eye sabbiiti ennamba, era kajja kutegeeza Obuganda enteekateeka nga bwe zinatambula.

Olukiiko lwa Buganda Olukulu luyitiddwa bukubirire ku Lwokusooka nga 22 March, 2010 ku ssaawa 4.00 ez’enkya tusobole okuteesa ku nsonga eno enkulu.

Watekeddwawo akakiiko kabakugu akagenda okwekenneenya ebyetaagisa (materials) n’ensimbi ezeetaagisa okuzzaawo Amasiro.

Obuganda butegeezebwa nti Obwakabaka busazeewo okuzzaawo Amasiro ga ba Ssekabaka gano, ng’akabonero k’omwoyo gwa Buganda ogutafa, ogutatya era ogutaggwawo.

Ssaabasajja Kabaka Awangaale!

Eng. J.B. Walusimbi

KATIKKIRO

Email Email Print Print

This post was written by:

Marlow Kasozi - who has written 34 posts on Buganda Post.


Contact the author

2 Comments For This Post

  1. Dr G.H.Kkolokolo says:

    Weebale nnyo Ssebo Oweekitiibwa Katikkiro!
    Oyogedde masajja era tusiima nnyo na kali kewalengeza ensi ku kya ssente Gavumenti ya wakati zeesuubizza okuwaayo kukuyamba okuzimba amasiro! Ddala kituufu batusasule ezo zetubabanja, okwo kwetuliggya ez’amasiro.Bangi tutya ekyo kyetuwulira nti gavumenti eyo bw’eneetuwa ssente ezo zinaaba ntongole wamu era n’obukwakkulizo bwazo obuliraga nti amasiro ssi ga Buganda yokka naye ne gavumenti eya wakati egalinako nnyo obwogerero kubanga yatoola ssente okugazimba!! Awo Ssebo watya? Oba baagala okuwaayo akantu, buli omu akawe ku lulwe ng’omuntu asaasira Buganda ne Kabaka! Mu kutwalira awamu, Buganda n’emikwano kati gyefunye mu kyokerezi kino bimala okuzzaawo amasiro gano.
    Ate Ssebo Oweekitiibwa, twandyagadde okulaba nti ebipimo bya Muzibu Azaala Mpanga gwetugenda okuzimba bigaziyizibwemu waakiri emmiita bbiri n’ekitundu okwetooloola wonna kubanga mu kino tuliba tufunidde Buganda eteggwawo enfo w’erisobola okuwummuliza ba Magulunnyondo abalifuga bannakasatwe ne bannakana baffe era nga mu kino kiribanga kyangu okubalimanga n’okubayooyotanga buli kaseera, anti bonna balibeeranga wamu nga bwekiri kati awo e Kasubi era nga bwekiri gamba e Bungereza mu Windsor Castle era nga bwekyabanga eno mu Bufaransa mu St Denis Basilica.Omulimo tegujja kutulema anti ne ssente tujja kuzeetema, ate kati ebika tulina na bingi okusinga bwekyabanga ku Muteesa I nga bazimba oyo Muzibu Azaala Mpanga.Buli kika kijja kukola ku bbugwe waakyo, awo olyoke olabe! Bo bajjajjaffe abaakola amakula ago agaayokeddwa,baalina ensimbi mmeka? Baalina loole mmeka ezisomba? Omwoyo gw’eggwanga ssigeegaali amanyi gaabwe? Laba kati ensi yonna bw’erumiddwa ennyo ekintu ku bimu ebibadde bitenderesesa Abaafirika okuba abagezi ennyo mu kuyiiya nga bakozesa engalo zaabwe, ekintu abalala kyebatalina bulungi!
    Ssebo Oweekitiibwa, kankwebazeemu ak’enjawulo olwokulaba nti onyweredde bulungi ku Kabaka waffe ng’omutuusaako bulungi okusaasira kwaffe wamu n’okwensi yonna! Era ng’oli bumu ne Bannaalinnya, abaana b’enngoma, kko n’Obuganda bwonna! Ate era Ssebo, weebale okwanguwa okulangirira okukungubaga wamu n’okuyita Olukiiko lwaffe luteese ku biriwo, era weebale okwanguwa okussaawo akakiiko ako akanaakola ku by’okuzimba obupya amasiro gaffe ago.
    Yongera okutusaasirira Ssabasajja Kabaka Waffe omwagalwa ennyo, abaana b’enngoma, Obuganda bwonna, era tukusaba otwebalize Bannauganda abo abatulaze omwoyo omulungi mu kufiirwa kuno kwetulimu!
    Kyokka abagwagwa abaakoze ekyo, tebalina kyebafunyemu! Anti ensi yonna okuva gy’eva okutuusa gy’ekoma kati erumirwa wamu ne Buganda ne Kabaka era eri ku Buganda ne Kabaka! Ate nga ne Uganda yonna wamu ne Africa biri naffe kati! Oyo yenna aloota nti alimenyawo Buganda ne Kabaka waayo, kati agende yeetugire ku munyaanya!
    Wangaala Ssebo Kitaffe Ssabasajja,Ekitangaala Ekimulisa Enjuba!
    Dr G.H.Kkolokolo (Paris / France)

  2. Dr G.H.Kkolokolo says:

    ENNYONGEREZA!
    Ssebo Ow’ekitiibwa Katikkiro, era okufaanana ensi yonna buli muntu ali wamu ne Ssabasajja, n’abaana b’enngoma, wamu n’Obuganda bwonna mu kulumirwa bannaffe abo abaafiiridde e Kasubi nga battibwa Abaserikale ba Uganda.Kitalo nnyo! Omukama bambi abawe ekiwummulo eky’emirembe!RIP! Ate era netusaasira abo abaafuniddeyo ebisago mu butemu buno. Omukama abayambe bassuuke bulungi. Mazima kyandikoze bulungi okulaba nti naddala abafu abo abaakubiddwa emmundu ku lwa Buganda ne Kabaka waffe bassibwa ku lukalala lw’abazira ba Buganda! Ne ba Ssekabaka baffe abagalammidde e Kasubi nabo bamanye nti bakyali nnyo mu mitima gyaffe era ne mu bufu bwabwe tukyabalwanirira nga tubakakasa obuvumu bwaffe obuli mu nngombo egamba nti “W’OLIGWA WENDIGWA”!
    era ng’okuwera kuno ssi kwa mu bigambo bugambo wabula ne mu bikolwa!
    Awangaale Magulunnyondo Ssentasoboka wa Bannantasoboka!
    Dr G.H.Kkolokolo (Paris / France)

Leave a Reply

You must be logged in to post a comment.