Email Email Print Print

Members of Buganda Royal Family Issue Statement on Kasubi – Luganda

Posted on 23 March 2010

EKIWANDIIKO OKUVA MU LULYO OLULANGIRA

OKUVA MU BASEKABAKA ABAGALAMIZIDWA MU MASIRO e NABULAGALA.

Ku lwenyumba, ya Ssekabaka Daudi Chwa II, abaana nabazukulu, Ba Nnalinya, abalangira na bambejja, Abaazana (ba Maama baffe) ba Saava neba Naava tutuusa obwenyamivu bwaffe olwo kwookya a Masiro ge Kasubi ” Muzibu azaala mpaanga” agazimbibwa emyaaka 130 egiyise.

Tusasira Ssabassajja Kabaka wa Buganda, olulyo olulangira, abakyala be Kasubi, Abazaana, neba Namasole olwobulumi obutagerageranyizika.

Tusasira awamu no kusabira abo bbona abafirwa abenganda zaabwe mukavuyo ne ffujjo erya dirira okujja kwa Masiro, era Tutuusa okusasira kwaffe eri abaganda ne bana Uganda okutwaliza awamu, abali mu Uganda ne kumawanga.olwe kikolwa kino ekyetima obukyaayi, nobunyoomi.

Twebaza abo bonna abakola buli kisoboka okutakiriza aMasiro.

Tuvumilila ekikolwa kino ekyetima, obukyaayi no bunyoomi, ekyagobelelwa okusanyaawo a masiro, awamu nebikolwa ebye ffujjo.

Newankubadde embuga eno nkulu ddala munsiyonna, ffe bazukulu ba Ssekabaka Mutesa owolubelyebyelye kyekijja kyaffe, bwebutaka era wetusibuka.

Ba Ssekabaka abagalamizidwa mukiffo kino beba;

  • Sekabaka Muteesa I
  • Sekabaka Mwanga II
  • Sekabaka Chwa II
  • Sekabaka Muteesa II

Tumaze ebanga ddene nga tulibelalikirivu nti a Masiro tegalina bukuumi bumala, nolwekyo, tutadewo a kakiiko akanatekawo enteekateeka eyoluberera, okutakiliza ebintu nga bino okuddamu.

Abo bbona abandyagadde okutuwa obuyambi bwe nsimbi obwokusobozesa okuzaawo a masiro, nebigya bya ba Sekabaka awamu ne Buggwe wo Lubiri ku masiro gano.

Akawunta namba: 301-031-0559 mu Centenary Bank mu manya gano wamanga;

HIS ROYAL HIGHNESS SIR DAUDI CHWA ROYAL FOUNDATION.

Buli anaawayo obuyambi tereka bulungi a kakonge a ko kwoteredde obuyambi mu Bank.

Obuyambi obulala ngESubi, Emuli, nebintu ebirala ebikozesebwa mu kuzimba nabyo tubyanyiriza.

Omuntu yenna eyandiyagadde okuwaayo akadde, okumanya no kwebuuza tukirira barro wamanga;

1. Nnalinya Sarah Kagere 0718-442833

2. Omulangira Namugala Mawanda Chwa (sentebbe) 0787-010896

3. Omulangira Joseph Kimbugwe Walugembe 0757-7313980

4. Omulangira Henry Kalemera Kimera 0701-212098

Nga 18th -March – 2010

Kiteredwako emikono :

l) Omulangira David Namugala Mawanda Chwa ( Sentebbe)

2) Nnalinya Sarah Kagere

AWANGAALE SSABASAJJA KABAKA WA BUGANDA

Email Email Print Print

This post was written by:

Special Reporter - who has written 219 posts on Buganda Post.


Contact the author

Leave a Reply

You must be logged in to post a comment.