Despite lack of recognition and, sometimes, outright hostility from some Buganda Government officials, Abazzukulu ba Buganda are widely recognized one of the leading groups in protecting Buganda’s rights. Abazzukulu, as they are often referred to, have for more than 10 years actively argued that Buganda has been under occupation since 1962, and needs to free herself. They are responsible for exposing many anti Buganda plots by Museveni and at Mmengo. For example, in the 1990’s Abazzuklu ba Buganda led the ejection Princess Ndagire from Kasubi tombs after she was hired by Museveni to discredit Kabaka Mutebi by calling him a son of Daudi Ocheng. Another example was in July 2004, when Abazzukulu challenged Mmengo over Shs 800m which Museveni’s government is alleged to have secretly paid to members of Katikkiro Ssemwogerere’s team to disorganize planned Baganda demonstrations for Federo.
Except for the brief period when Dan Muliika was Katikkiro, the relationship between Mmengo and Abazzukulu over the last 15 years, has been quite tense. In 2006 the group did not spare, even Muliika, when they accused him of being soft for glorifying Federo. Abazukkulu insist that Buganda has been under occupation, since 1966. Federo is a cowardly compromise that demeans what our ancestors died for and the only solution is full national independence under our Kabaka.
Below are the minutes (in Luganda) of a meeting members of Bazzkulu had with Katikkiro JB Walusimbi on August 31, 2009. This was less than two weeks before the infamous genocidal massacre of Baganda by Museveni’s NRM police and army. Throughout the meeting, Abazzukulu expressed disappointment with what they view as incompetence, corruption and anti Buganda activities at Mmengo.
ENSISINKANO Y’OLUKIIKO LWA BAZZUKULU BA BUGANDA NE KATIKKIRO OWEK J B WALUSIMBI NGA 31/08/09
Ebikulu ebyaali mu nsisinkano eyo
Okussoka kwa byonna tukwebaza olw’omukisa okutusisinkana n’okubaganya naffe ebirowoozo ku nsoga zaffe, wadde ng’ezimu tewazinnyonyoka. Ekituwandiisizza kwekulamba ensisinkano yaffe naawe kulw’okulondoola byetwayogerako.
Ettemu eriyinda
Olukiiko lwakulaga obweraliikirivu bw’Abaganda ku butemu obugenze mu maaso okumala ebbanga; ng’omwo mwemwaali n’okwokya abaana be Buddo. Lwakutegeeza nti kati mu Buddu, e Kyannamukaaka, Kyesiiga, Kiziba, Mutondo ne Bisanje mwaali mutemuddwaamu abantu naddala ng’abatemu beeyita abalwanirira federo n’ettaka. Naye gavumenti egamba nti abo babbi. Ekyo olukiiko lwakigerageranya n’ekyokuttirimbula abaganda nga Joseph Mubiru ku mulembe gw’Amin- naye ng’akabinja akabatemulanga kaasasulirwanga gavumenti ya Nyerere. Ate era nga mungeri y’emu abaganda abattibwa e Nankulabye mu 1964, gavumenti yakiteeka ku batamiivu.
Olukiiko lwakutegeeza nti okutemula abantu naddala abaana kati okudenda mu maaso kukkweekeddwa mu “kissadaaka abaana”. Kati bakugasseeko n’okubba abaana abawere mu malwaaliro mu Buganda.
Olukiiko lwakulaga nti lubuusabuusa nti ebyo sibitegeke butegesi ebigenderera okuteekesaawo etteeka eriyingirira ebyobuwangwa byaffe.. Era olukiiko lwakutegeeza nga bwekiwulirwa nti waliwo etteeka nga lyayitaako n’emungalo za Dr Nambatya nga lisuubirwa okukola ng’erya 1929 eryawera ensinza n’enzikiriza Nansangwa.
Olwebyo olukiiko lw’Abazzukulu lwakusaba okuzuukusa enkola ya Gwanga mujje eyambeko abaganda okwewa obukuumi. Era lwakusaba okuteekawo okulondoola obutemu buno obugenda mu maaso ng’okundoola gavumenti ya Rwanda eweebwa Bungereza sente okugula ettaka lya Buganda.
Olukiiko lwagattako n’okulondola ebitebe by’amawanga ag’ebweru agali wano ng’ekya Bungereza ne Sweden, n’ebitongole byaabyo ebyobwannakyeewa ebikolera wano.
Kyalabika nti naawe obweraliikirivu obulina naye ng’obusobozi obukola ku nsonga eyo olina butono. Era walaga obweraliikirivu ku bavubuka abatalina mirimo abangi, abanywi bejaaye okuba nga bayinza okweyambisibwa okukola ettemu eryo.
Ku kyokuzuukusa enkola ya Gwanga Mujje wabuusabuusa obusobozi bwaayo okukola mu kibuga nga Kampala kubanga abantu beefaako bokka tebakyakolangana n’abannaabwe. Naye walaga essuubi nti mubyaalo enkola ya Gwanga Mujje eyinza ob’olyaawo okusoboka okukola.
Olukiiko lukkiriza nti tolina busobozi bummala. Naye era lukimanyi nti osobola okubaako ky’okola mu mbeera eno. Twaakuwa amagezi okweyambisa ebitongole ebirwanirira eddembe ly’obuntu, n’ebyamawulire, bannaddiini n’abaganda bannakyeewa abalina obumanyirivu mu nsonga ezo.
Map ya Buganda
Olukiiko lwemulugunya ku kya Mmengo okuffulumya Map ya Buganda entongole ng’eriko amasaza 18. Nga map eyo ebulako amasaza 2 Buyaga n’eBugangaizi.
Olukiiko lwakubuuza nti nga bwetukyaali mubuwambe, bwebulikya ng’amasaza amalala nga Buluuri, Singo, ne Bugerere gatwaaliddwa ng’olwo Mmengo era effulumya Map endala eraga nti amasaza ga Buganda gali 13?
Emivuyo gy’ettaka
Olukiiko lwebuuza lwaki mmengo eyogera ku mailo 9000 zokka n’erekayo mailo 8000?
Olukiiko lwakubuulira emivuyo egikolebwa Buganda Land Board. Lwakutegeeza nti abayeekera Kabaka abali mu BLB, bagoba abaganda ku ttaka n’ebaliwa abagwiira. Okugeza mu Gombolola y’omukulu w’ekibuga mu Kisenyi mu Buwanika zone awaali enju y’omuwanika BLB yagobawo Abaganda abakolerawo n’ekakasa obwannanyini bwa Gaster Mugoya eyabba ettaka eryo ng’ayita Uganda Land Commission (ULC).
N’e Makindye Ssaabagabo, e Buziga e Konge BLB egoba abaganda ku ttaka, eriwe mukyaala Museveni eyalibbira mu Uganda Land Commission.
Ekifaananyi abayeekera bano kyebalaga abaganda kiri nti Kabaka y’abagoba ku ttakka okuliwa abagwiira.
E Nansana abantu bajjibwaako sente 200,000/= okuwandiisa ebibanja byaabwe naye nga tebaweebwa alisiiti. Era olukiiko lwakutegeeza nti abayeekera bano abaliira Kabaka munda bagendera mu motoka za BLB okugoba abantu ku ttaka n’okumenya enyumba zaabwe nga bwekyaali eBusaabala.
Olukiiko lwakubuuza lwaki ovumaganya Ssabasajja n’okumukyayisa abantu be ng’oyita mu Kitongole kya Buganda Land Board.
Kunsonga ezo watuddamu nti;
Ekyogeza ku mailo akenda kokka n’ebalekayo eddala kiri nti mailo akanaana kali mi mikono gy’abaganda.
Ku kya Buganda Land Board watutegeeza nti eno BLB eriwo kati teringa eri eyaliwo eya 1962-66. Eno evunaanyizibwa ku lusuku lwa Kabaka olwa mailo 350 lwokka. N’olwekyo nti Buganda Land Board (BLB) teri mu buyinza bwo. Nti Kabaka yagifuya butereevu.
Watutegeeza nti ebyo naawe wali obiraba era obiwulira. Naye obuyinza bwo butono ku BLB. Wabula watugamba nti abo betwaayita abayeekera bwetubasanganga aga balya enguzi oba ngabakola emivyo egyo tubakkwaate tubakuleetere, nti ojja kutandikira awo-okubakolako.
Olwa 24/May/1966
Olukiiko lwakutegeeza nti lumaze emyaaka kuminagumu nga lutegeka omukolo gw’okujjukira olunaku lwa 24/ May/ 1966 Buganda lweyawambibwa Uganda. Olukiiko lwakujjukiza nti nga 21/may/2009 lwakusisinkana n’erukusaba olunaku olwo olwa 24 May lutongozebwa. Nti era lwakikola mu buwandiike nga bwewalusaba. Olukiiko lwayagala okumanya ensonga eyo weyimiridde.
Okuboolebwa
Olukiiko lwakutunuza mu nsonga yaalwo ey’okuboolebwa ku mikutu gyamawulire, newankubadde ng’ebibiina n’abantu bonna bakkirizibwa okuwa endowooza zaabwe eri abantu.
Emikutu olukiiko gyerugezaako okuyisa endowooza yalwo, abakozi baayo abakiiriza Abazzukulu bagobebwa ku mirimo. Ebyokulabirako ye Nsereko Basajja Mituba (WBS), ne Sempala (Sapiensa).
Olukiiko lwakulopera nti ate yo ku CBS “Radio Yaffe” ekintu kyonna eky’olukiiko lw’Abazzukulu tekisobokera ddala kuyita ku mpewo. Nti n’ebirango by’olukiiko ebisasulire nabyo byaali tebikirizibwa emirundi egisinga.
Mu kuddamu ensonga zino watutegeeza nti ensonga ya 24-May ebbaluwa yaffe wagifuna. Nti era wali ogenda kugitwaala mu Cabinet mugiteeseeko era olwa 24-May luteekebwe ku calendar lujjukirwe nga Abaganda mu butongole.
Ku ky’okuboolebwa CBS olukiiko walusuubiza nti ogenda kwogera n’abagivunaanyizibwaako olabe nti tuweebwa omukisa ng’abalala.
Eby’okukola oluvanyuma lw’okummibwa Federo
Olukiiko lwakutegeeza nti Buganda kyeyeetaaga kati bwetwaaze, kubanga ne Federo nabwo buffuge.
Olukiiko lwakutegeeza nti Buganda kati erina ebizibu bibiri byokka – ebisinga obukulu. Nti ebizibu ebyo bwe bigyibwaawo, ebirala byonna byekolako byokka.
Ekizibu ekisooka Buganda kyerina ye ffe Abaganda abaliwo kati. Omuzungu bweyajja wano yakozesa eddiini n’obuyigirize n’agootaanya ebirowoozo n’okutegeera kwaffe, nga kati wetwaatuuka tetukyasobola kumanya nti Buganda ne Uganda Chemistry w’abyo wanjawulo nnyo n’olwekyo tebisobola kutambulira wamu wadde okugattibwa.
Buli bwetugezaako okubisisinkanya wabeerawo okubwaatuka. Kino kiri bwekiti kubanga Buganda lyo Gwanga tonde butonzi ng’eyalitonda yaliteerawo obutonde/obulombolombo bwalyo mweritambulira. Ate yo Uganda yateekebwaawo bantu buntu-ng’etambulira ku kupangapanga na kuffumbirira kwa kiryammere.
N’olwekyo eky’obutonde n’ekyobulyammere tebiyinza kugattibwa wamu n’ewatabeerawo buzibu. N’omutonzi tasobola kukikkiriza, naddala bwekiba nti ekyekiryammere ate kyekigenda okuffuga eky’obutonde!!!
Kyova olaba nga kati Abaganda bangi nnyo batuuka n’okulowooza nti awatali Uganda, Buganda tesobola kubeerawo.
Ky’ova olaba nti kati eby’eBuganda tuffunvubira buli kimu kukigonjoolera mu byabufuzi n’abafuzi ba Uganda n’ewankubadde nga buli lwe tugezezaako tekisobose wabula tukifunyeemu kutabulwa na kusoberwa!!!
Ky’ova olaba ng’Abaganda balowooza nti Kabaka ne Pulezidenti bafaanana/ benkana. N’olwekyo pulezidenti bwaakola ebibye ne Kabaka bwateekwa okubikola.
Ky’ova olaba nga kati Abaganda banji balowooza nti nga pulezidenti bwakulakulanya ensi gy’afuga, ne Kabaka bwakulakulanya Buganda. N’owulira ng’omuganda agamba nti “Ssabasajja Kabaka awangaale – akulakulanye obuganda.”
Enjogera eno ewulikika ng’entuufu naye evaamu ebizibu binji nnyo nyo byetutayinza kumenya netubimalayo.
Ekyokukolera ekizibu kino kifaananira ddala nga Martin Luther King ne munne Malkom X kyebaakolera baddugavu bannaabwe kyebaayitanga “Black Consciousness Movement” olw’okujja abaddugavu mu buddu mwe baali bamaze emyaaka eminji ennyo.
Naffe wano Abaganda, olw’obuddu omuzungu bweyatuteekamu emyaaka minjiko egiyise, okutegeera n’okukiriza kwaffe byasuulibwa mu bunnya n’etufuuka abatakyaalina bwesige mu Nyaffe Buganda netufuuka abatakyasobola kumulwanirira, kumukolerera nga bajjajjaffe bwebaakola.
Nolwekyo waliwo obwetaavu bw’okuteekawo Buganda Consciousness Movement.
Olukiiko lwagenda mumaaso nerukulaga nti ekizibu ekyokubiri Buganda kyerimu bwe Bufuge.
Buli bufuge w’ebubeera bufuuka obuddu. Obuganda obufuge bwe kika kya Federo bweyamalamu ebbanga bwagifuula OMUDDU- wa Uganda.
Ky’ova olaba nga tetulina ddembe ly’akwerowooleza na kwesalirawo – kubanga omuddu teyeelowooleza era yeyeesalirawo!!!
Ky’ova olaba nga tetulina ddembe lyakubeera na byaffe nga n’okututta webaagalira we batuttira newatabeerawo n’avunaana kubanga omuddu tabeera na dembe lyakubeera na bibye nga n’obulamubwe buba bwa mukama we. Ne bwamutta, tewaba avunaana.
Ky’ova olaba nti ettaka lyaffe twerwanako bwerwanyi nga buli ayagala y’atwaala.
Tuteekwa buteekwa okulwanyisa okuffege/obuddu obwa buli kika, nga ne Federo mweri kuba nakyo kika kya Bufuge obuzaala obuddu.
Buli bwetwogera ku Federo tukimanye nti tuba twogera ku kika kya Bufuge/ Buddu kubanga tuba twettanira waggulu wa Buganda kuteekayo Uganda ne waggulu wa Kabaka kuteekayo pulezidenti!!
Ky’ova olaba nti n’ewankubadde mu 1966 Buganda yali ekutte “full Federo” mu ngalo, Uganda yatukuba netugwa ku taka kwetukyalemeddwa okuva!!
Federo teyatuyamba kubanga mu Federo newankubadde twesigaliza “Obuyinza” obusinga naye baatusuula ku taka kubanga akusinga akukubisa gw’okutte!!
Ate era Owekitiibwa, amajolobera ge tuteeka ku federo si gaayo kubanga Federo emyaka ena gyetwamala nayo (ng’omuzungu agenze) tewali kyetwagikolamu kubanga emyaka ena twagimala amazzi tuffuuwako mafuuwe nga Gavumenti ya Uganda etukuumira ku bunkenke!!
Wabula tusaanye okujjukira nti obufuge/obuddu twabuyingira mu 1962 olwendagaano gyetwaakola nga tuli n’Amawanga amalala 14 olwensonga zino wammanga.:
- Okutondawo ensi Uganda
- Okutondawo gavumenti ey’okufuganga ensi Uganda
- Olwokugatta amawanga 15 agagikola
- Okuteeka amawanga 15 wansi w’obufuge/obuddu bwa Gavumenti ya Uganda.
- Olwa Buganda okupangisa gavumenti ya Uganda ettaka lye Kampala ne Entebe, gavumenti ya Uganda ekolereko emirimo gyaayo.
Wabula mu 1966 gavumenti ya Uganda yatema ettabi kweyali etudde bweyamenyawo endagaano gyetwogerako ne kiba nga kyategeeza era kikyategeeza nti byonna endagaano byeyali eteekawo byavaawo kubanga tebiyinza kusigalawo ng’endagaano eyabitondawo tekyaaliiwo.
N’olwekyo Owekitiibwa Katikiro, okumenyebwaawo kw’Endagaano eyo bwe Buwonero bwa Buganda kubanga kati Buganda terina ndagaano na muntu yenna. N’olwekyo tewali ateekwa kudduumira Buganda wadde okugisongamu olunwe.
N’olwekyo kati Buganda ya dembe okwefuga yokka. Kyeturina okukola nga Buganda kwekuwawabira bannakigwanyizi abalemera ku ky’okufuga Buganda obuddu mu kooti y’e kibiina kyamawanga amagatte [UNO].
Owekitiibwa, wakiriziganya n’olukiiko ku kyokutwaala ensonga za Buganda mu kooti yensi yonna- mu kibiina ky’Amawanga amagatte.
Okusisinkana Ssabasajja Kabaka
Mukukubaganya ebirowoozo naawe olukiiko lwasanga lulina obwetaavu okusisinkana Ssabasajja Kabaka, naye lusobole okumwanjulira ensonga ezo. Nerukusaba olusobozese okusisinkana Ssabasajja Kabaka. Owekitibwa watusuubiza okutukolera entegeka ku nsonga eyo.
Ekyaapa kya Bulange
Twaffundikira ne nsonga y’ekyapa kya Bulange. Ku nsonga eyo watunnyonyola nti ekyaapa kya Bulange kyayawuzibwaamu ebitundu bisatu. Ekimu kwekuttudde Bulange, ekirala kwekuli oluggya lwa Bulange. Ekyokusaatu kwekutudde ekizimbe Amin kyeyazimbako (Bulange Plaza). Watulaga nti mwagala kufuula kizimbe kya Bulange plaza kizimbe kyabusuubuzi ekyawule ku Bulange. Era watutegeeza nti ekyaapa ekikadde kyabula. Nti kati kyemulina kya 1993.
Olukiiko lwebuuza ekyayawuzaamu ekyaapa ekyo emirundi esatu. Olukiiko lwewunnya ekyayawuza ekyaapa ky’oluggya lwa Bulange okukigya ku kizimbe – Bulange kyennyini.
Olukiiko terwakiriziganya naawe ku nsonga y’akuzimba kizimbe kyabusuubuzi nga kirinaanye Bulange. Netukusaba nti bwekiba nti ekizimbe ekyo mwagala kukimaliriza wadde nga tekyaali ku plan ya Bulange, bwekiba kizimbiddwa kireme kubeera kya busubuzi, zibeere office za Bulange.
Katikiro tewakaanya naffe kunsonga eyo. Era naffe tetwakkaanya nanteekateeka yakukutula ku Bulange kifo kyonna kukifuula kintu kirala kyonna ekikendeeza ekitibwa ky’ekitebe ky’obwakabaka bwa Buganda.
Olukiiko lwakulaga obweraliikirivu bwerulina eri olukwe lw’abalabe ba Buganda olw’okusaanyaawo buli Kintu kyonna ekiraga nti waaliwo kko eggwanga erjyjtibwa Buganda eryefuga likirimegga eryekitiibwa etutumufu. Olukwe olwo olutera okukweekebwa mu nkulakulana po namakubo g’okuyingiriza obwakabaka sente luluubirira nadala kusaanyawo olubiri lw’eMmengo, Amasiro naddala ag’eKasubi, Bulange n’obutaka bw’eBika.
Olukiiko lwatuuka ku nkomerero, era nerugalwaawo. Olw’okulamba ensisinkano eno ku lw’okugoberera ebyakkaanyizibwako tukusaba Ssebo owekitibwa Katikkiro okirize otuteereko omukono wamanga wan
Katikkiro Ssentebe
……………………….. ……………………………
J.B Walusimbi Mubiru Njuki ku lwa Ssentebe
Olukiiko Lw’Abazukulu Ba Buganda





October 27th, 2009 at 8:09 am
Abazzukulu ebyo byemwogerako naffe Abaganda bangi eno ebweeru byetuliko. Era kati tulaba nga nebannaffe abalala bangi bagenda batweyungako mu ndowooza eno. Tewali nsonga lwaaki nga twegayirira zi Federo. Ensi eyetongodde teyinza kukkiriza ebyo bya kugifunyafunyizibwa buli mubbi namulyaake. Nabagwiira betwabudamya bajje batusajjalaateko batukwaate nemisango lwaaki tetwalina masowaani netubaweera emmeere ennungi naffe kwetulidde ku ndagala. Olulala balindanga UN negibakanyugira okuva ku bimotoka. Tewagenda kubeera kutegeragana wakati wa Buganda nekyo ekiyitibwa Uganda. FREEDOM NOW!!
Awangaale Ssaabasajja Kabaka wa Buganda ensi yaffe.