Zakaria Kakumba
Nyendo – Masaka, Buddu
Luganda (Original)
Mwana waffe Ssemujju, tufunye ensisisi okuwulira nti olanze mu butongole nti oli mu FDC era kati otambulira ku bilagiro bya Mukiga Omuhororo Kiiza Besigye ne mukyala we ‘katula kebise buka’ Omulaalo Winnie. Wadde simanyi kusoma luzungu naye mbadde nenyumiririza nnyo mu bigambo by’owandiika kubanga babinkyusiza bulungi abavubuka. Ate on’omugu w’eddalu bweyali tanaba kusalako radio yaffe, nga sikusubwa ne madamu ticha Nambooze ku Kiriza oba gaana. Nze awamu ne mukyala wange ffena otulese bubi nnyo, kubanga tubadde tumanyi nti oli musajja mugezi nnyo era omanyi ebyafaayo bya Buganda. Era nga omanyi nti banamawanga bonna okuva ku bazungu ku Muteesa I okutuuka ku Museveni ku Mutebi II balwaana kumalawo Buganda. Oyo Omukiga namwe abakozesa bukozesa nga kondomu era olunamala nga asuula mu kyolooni. Olowooza bwebinatuuka ku nsonga enkulu ennyo ez’ebyaama bya FDC Besigye oba Winnie Byanyima banabyogerako nga waliwo omuzirango Ssemujju?
Ssebo mutabani, eriso ly’omukulu, awaddugala wewalaba. Kyenva nkusaba wekube mu kifuba ogende mpola ku banamawanga. Ye ddala enjawulo wakati wa Museveni ne Besigye egenda kuba etya? Olowoza ba Seguya, Abu Mayanja, Kisekka nabo si bwebeewa Museveni mbu kubanga yali aleeta enkyukakyuuka ez’omoggundu? Mutabani bazaamu, senga Besigye awangula nga bwolowooza, emirimu ggyonna egy’amaanyi anagiwa ani? Oba tomanyi, kankubireko nti Abakiga bajja kwongera ku kyebalya naye omulyo era gujja kusigala mu be bugwanjuba. Ku bya Buganda, agenda kwegaana endagaano zonna nga Museveni bwakola kati. Kubanga ssenga Abaganda tufuna Federo eya 1962 ne mailo 9,000 tuba tujja kuyitawo nnyo. Teli munamawanga mu Uganda, abe Mukiga, Mulango, Munyoro oba Musoga, ayinza kukikkiriza. Wadde Omuganda nga Haji Nasser Sebagala senga awangula, tagenda kukiriza.
Bulijjo ffe tumanyi nti omutima gwo gusibira ku bya Buganda na Ssabasajja. Mutabani kyaali kiwaani? Anti wadde ffembi tuli basilaamu naye tukimanyi nti okugenda okukuwoowa n’omukyala omulala nga gw’olina kati mulwadde tolina zimujanjaba, biba bya Ekanya. Kituluma okuba nti luli obadde n’omulamwa ogwa nabaddala era nga nebwogwaako ekizibu okuva mu ba NRM tumanya ensonga. Kati omulamwa ggwo gufuuse ki okujjako okutendereza Omukiga Besigye? Bwebanakuba ebiyiso, onotugamba nti babikkubira Bakiga na Balaalo?
Katusabe Mungu akuwe emirembe era bwekiba kisoboka akuzibule amaaso, otegeere nti ebintu bya Uganda bya ‘lubaale mubbe’. Bano abasajja, nga ne Besigye mw’omutwaalidde, ba luganda abajja okunyaga Buganda. Bwebayomba mbu FDC oba NRM, tewemalaayo nnyo kubanga ‘ab’oluganda bita, bwebikonagana tebyatika’.
Ssabasajja Awangaale.
Notes and English Translations By Buganda Post Writers
On October 29, 2009 Ibrahim Ssemujju Nganda, one of the most prominent pro-Buganda journalists in Uganda announced that he had joined FDC. Prior to the announcement, Mr. Ssemujju was known to be relatively independent of Ugandan political parties although he showed sympathy for FDC and JEEMA and openly opposed the NRM. For details of Ssemujju’s announcement see “SSEMUJJU NGANDA: Why I have joined FDC” or visit the Observer website at www.observer.ug.
English
Our son Ssemujju, we were shocked to hear that you officially announced that you are FDC and will now take your orders from the Muhororo Mukiga Kiiza Besigye his Mulaalo ‘katula kebisse buka’ (‘sweet looking bitter pill’) Winnie. Although I don’t know who to read English, I have been very proud of what you write because the young people here translate well for me. And before the mad man closed our radio station, I would never miss listening to you on the “Kiriza Oba Gaana” (”Take It Or Leave It”) program. You have left both me and my wife in a very bad situation because we were confident that you are an intelligent man who knows the history of Buganda. And that you know that foreigner, from the time of the British with Muteesa I to Museveni with Mutebi, are always fighting to take Buganda off the map. That Mukiga will also use you like condoms and afterwards throw you away in trash. Do you really think that when it comes to discussing sensitive FDC matters Besigye or Winnie Byanyima will do it in the presence of a Ngo clan member Ssemujju?
Son, the dirty part of an elder’s eye is what sees. That is why I am begging you to rethink your decision and go slow with these foreigners. Really, what is the big difference you expect between Museveni and Besigye? Son, think about it, if Besigye wins as you believe, who is going to get all the important jobs? In case you don’t know, let me tell you that Bakiga will eat more but, overall, everything will stay with the westerners. On Buganda issues, he will simply deny having signed any agreements as Museveni has done. Because, if Baganda get the 1962 Federo plus the 9,000 square miles they may develop very fast. No foreigner in Uganda, whether Mukiga, Langi, Munyoro or Musoga would allow it. Even if a Muganda like Haji Nasser Ssebagala wins, he will not allow it.
All along, we were sure that your heart is with Buganda and Ssabasajja Kabaka. Son, were we misled? That is because, though both of us are Muslims, we know that running to marry a second wife when you have money problems and your first wife is sick, is ridiculous. It pains us that up to now you had a clear agenda so that even if the NRM people gave you problems, the reasons would be clear. Now, what is you agenda except to praise and promote Besigye? And if they inject you with funny chemicals, will it be for Bakiga and Balaalo?
We shall pray to God to give you peace and, if possible, to open your eyes so you can understand that Uganda politics is a case of ‘lubaale mubbe’ (”the bag is empty”). These people, including Besigye, are all of one family and they came to ransack Buganda. Even when the fight over FDC or NRM politics, don’t get too involved because ‘ab’oluganda bita, bwebikonagana tebyatika’ (”brothers are like wine gourds, when they knock each other they never break.”)
Ssabasajja Awangaale.


